Numbers 18:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oleetanga baganda bo ab'omu kika kya Leevi, ekika kya kitaawo, ne bakuyambako ng'oweereza mu Weema y'Endagaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onooleetanga Abaleevi banno ab’omu kika kyo eky’obujjajja ne babeegattako, ggwe ne batabani bo, okubayambanga bwe munaabanga muweereza mu Weema ya Mukama omuli Essanduuko ey’Endagaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onooleetanga baganda bo, ab'omu kika kya Leevi, bakuyambenga mu kuweereza. Naye ggwe ne batabani bo, mmwe munaaweerezanga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onooleetanga baganda bo, ab'omu Kika kya Leevi, bakwegatteko, bakuyambenga ggwe ne batabani bo, nga muweereza mu Weema.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baganda bo nabo, ekika kya Leevi, ekika kya kitaawo, basembeze wamu naawe, bagattibwe naawe bakuweerezenga: naye ggwe ne batabani bo wamu naawe munaabanga mu maaso g'eweema ey'obujulirwa.