Numbers 18:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Aroni nti: “Mu nsi yaabwe temulibeerako na busika, era temulibaako na mugabo mu bo. Nze mugabo gwo, nze busika bwo mu Bayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Toobenga na byabusika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; Nze mugabo gwo era Nze busika bwo mu baana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Alooni nti Toobenga na busika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; nze mugabo gwo n'obusika bwo mu baana ba Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Arooni nti: “Tolifuna ttaka lya nsikirano, wadde okuweebwa omugabo mu nsi y'Abayisirayeli. Ku byange kw'onoogabananga, era kw'onoofunanga ebikubeezaawo mu Bayisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Alooni nti Toobenga na busika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo: nze mugabo gwo n'obusika bwo mu baana ba Isiraeri.