Numbers 18:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Leevi mbawadde ebyekkumi byonna ebya Yisirayeli, bye binaaba obusika bwabwe ng'empeera olw'okuweereza kwe bampeerezaamu mu Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ebitundu eby’ekkumi byonna abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga, mbiwadde Abaleevi okubeeranga omugabo gwabwe nga ye mpeera yaabwe olw’omulimu gwe bakola nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era, laba, abaana ba Leevi mbawadde ebitundu byonna eby'ekkumi, abaana ba Isiraeri bye bawaayo okuba omugabo gwabwe n'empeera yaabwe olw'okuweereza kwe baweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama era n'agamba nti: “Abaleevi mbawadde ebitundu byonna eby'ekkumi, Abayisirayeli bye bantonera, bibenga byabwe eby'ensikirano era ebibayimirizaawo. Eyo ye mpeera gye banaaweebwanga, olw'obuweereza bwabwe mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaana ba Leevi, laba, mbawadde ebitundu byonna eby'ekkumi eby'omu Isiraeri okuba obusika, okuba empeera y'okuweereza kwabwe kwe baweereza, kwe kuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu.