Numbers 18:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'okuva kati Abayisirayeli tebaasembererenga Weema ey'Ensisinkano, sikulwa nga beetikka omusango gw'ekibi ne bafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era okuva leero abaana ba Isirayiri tebaasembererenga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, si kulwa nga bakolerayo ebibi, ne bafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okuva leero abaana ba Isiraeri tebaasembererenga Weema ya kusisinkanirangamu, balemenga okubaako ekibi ne bafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'okuva kati, Abayisirayeli abatali Baleevi, tebagezanga okusemberera Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, balemenga okwonoona ne battibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okuva leero abaana ba Isiraeri tebaasembererenga weema ya kusisinkanirangamu, balemenga okubaako ekibi ne bafa.