Numbers 18:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abaleevi bokka be b'okumpeereza mu Weema ey'Ensisinkano, era be baneetikkanga omusango gw'ebyonoono mu yo. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna. Mu Bayisirayeli si ba kubeerako kya busika kyonna kye bafuna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi be banaakolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era be baneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe banaakolerangayo ebibi. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Tebaafunenga byabusika mu baana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abaleevi, be banaakolanga omulimu ogw'okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu, era be banaavunaanyizibwanga ebyayo ebinaabanga bisobye. Lino lye tteeka ery'olubeerera, erinaakolanga ne ku bazzukulu bammwe, nti Abaleevi tebabanga na ttaka lya nsikirano,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abaleevi, be banaakolanga omulimu ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, era be banaavunaanyizibwanga ebyayo ebinaabanga bisobye. Lino lye tteeka ery'olubeerera, erinaakolanga ne ku bazzukulu bammwe, nti Abaleevi tebaabenga na ttaka lya nsikirano,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abaleevi banaakolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu, nabo banaabangako obutali butuukirivu bwabwe: lino linaabanga tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna, era mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika.