Numbers 18:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga mbawadde ebyekkumi Abayisirayeli bye baweereza ew'Omukama ng'ekitone. Kyenvudde ŋŋamba ku bo nti: mu Bayisirayeli tebalibaako na kya busika kyonna kye bafuna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ebitundu eby’ekkumi abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama, mbiwadde Abaleevi okubeera omugabo gwabwe. Noolwekyo tebaabenga na byabusika mu baana ba Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebitundu eby'ekkumi eby'abaana ba Isiraeri, bye bawaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, bye mbawadde Abaleevi okuba obusika. Kyenvudde mbagamba nti Mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ebitundu eby'ekkumi Abayisirayeli bye bantonera Nze Mukama, nga bye biweebwayo ebyenjawulo, bye mpadde Abaleevi okuba ebyabwe, kyenvudde mbagamba bo nti tebaabenga na ttaka lya nsikirano mu Bayisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebitundu eby'ekkumi eby'abaana ba Isiraeri, bye bawaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, bye mbawadde Abaleevi okuba obusika: kyenvudde mbagamba nti Mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika.