Numbers 18:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abaleevi nti: ‘Bwe mufunanga ebyekkumi okuva ku Bayisirayeli, bye nabawa ng'obusika bwammwe, ate mutoolangako ekyekkumi ne mukiwa Omukama ng'ekitone.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yogera n’Abaleevi obagambe nti, ‘Bwe munaafunanga ebitundu eby’ekkumi, bye mbawadde ng’omugabo gwammwe, nga mubiggya ku baana ba Isirayiri, munaggyangako ekitundu eky’ekkumi ne mukireeta nga kye kiweebwayo kyammwe eri Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate onooyogera n'Abaleevi n'obagamba nti, “Bwe munaasoloozanga ku baana ba Isiraeri ebitundu eby'ekkumi, bye mbawadde mmwe okuba obusika bwammwe, kale munaawangayo ku byo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, ekitundu eky'ekkumi eky'ebitundu ebyo eby'ekkumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ayogere n'Abaleevi, abagambe nti: “Bwe munaggyanga ku Bayisirayeli ebitundu eby'ekkumi Mukama by'abawadde mmwe okuba ebyammwe, munaatoolangako ekitundu ekimu eky'ekkumi ku byo, ne kiba ekiweebwayo ekyenjawulo, kye muwaayo eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate onooyogera n'Abaleevi n'obagamba nti Bwe munaasoloozanga ku baana ba Isiraeri ebitundu eby'ekkumi bye mbawadde ku bo okuba obusika bwammwe, kale munaawangayo ku byo ekiweebwaye ekisitulibwa eri Mukama, ekitundu eky'ekkumi eky'ebitundu eby'ekkumi.