Numbers 18:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitone kyammwe kiribabalirwa ng'eŋŋano gye muwaddeyo okuva mu gguuliro lyammwe n'ekipimo ekijjudde okuva mu ssogolero lyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiweebwayo kyammwe kinaabalibwanga ng’emmere y’empeke ey’omu gguuliro oba ng’omubisi ogw’omu ssogolero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kye muwaayo ekisitulibwa kinaabalibwanga ng'omulimi ky'awaayo, eky'emmere ey'empeke, gy'aggye mu gguuliro, n'eky'omwenge ogw'emizabbibu gw'aggye mu ssogolero, bwe kimubalirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekiweebwayo ekyo ekyenjawulo kye muwaayo, kinaababalirwanga ng'omulimi ky'awaayo, eky'emmere ey'empeke, gy'aggye mu gguuliro, n'eky'omwenge ogw'emizabbibu, gw'aggye mu ssogolero, bwe kimubalirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kye muwaayo ekisitulibwa kinaabalibwanga gye muli, ng'emmere enkalu ey'omuguuliro, era ng'ebikula mu ssogolero.