Numbers 18:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mutyo nammwe mulibaako ekitone kye muweereza Omukama okuva ku byekkumi bye mufuna okuva ku Bayisirayeli. Ekitone ky'Omukama ekiva ku byekkumi bino mukikwasanga Aroni kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ngeri eyo nammwe munaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga mukiggya ku bitundu eby’ekkumi bye munaafunanga ku baana ba Isirayiri. Ku bitundu ebyo eby’ekkumi kwe munaggyanga ekiweebwayo kya Mukama ne mukikwasa Alooni kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo nammwe munaggyanga ku bitundu byammwe byonna eby'ekkumi abaana ba Isiraeri bye babawa, okuwaayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; era munaggyanga ku byo okuwa Alooni kabona ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutyo nammwe munaggyanga ku bitundu byonna eby'ekkumi, Abayisirayeli bye babawa mmwe, ne muwaayo eri Mukama, ekiweebwayo ekyenjawulo. Ekiweebwayo ekyo ekyenjawulo kye muwaayo eri Mukama, munaakiwanga Arooni kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)