Numbers 18:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna bye muggya ku byekkumi ebibaweereddwa, mulondobangako ekitundu ekisingira ddala obulungi ng'ekitone ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu birabo ebyo byonna bye banaabawanga munaggyangako ekisingira ddala obulungi era ekitukuvu ennyo ne mukireeta nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku birabo byammwe byonna kwe munaggyanga buli ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa, ku ebyo byonna ebisinga obulungi, kye kitundu kyabyo ekitukuzibwa kye muggya ku byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirabo byonna bye mufuna, ebisinga obulungi ku byo, kwe munaatoolanga ekirabo ekyenjawulo kye mutonera Mukama, era munaakiwangayo nga kijjuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku birabo byammwe byonna kwe munaggyanga buli ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa, ku ebyo byonna ebisinga obulungi, kye kitundu kyabyo ekitukuzibwa kye muggya ku byo.