Numbers 18:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi bakwatanga by'onoobanga obakuutidde, n'emirimu gyonna egy'omu Weema be banaagikolanga, kyokka nga tebasemberera bitukuvu eby'omu Kifo Ekitukuvu ne ku mwaliiro, sikulwa nga ggwe nabo mufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaaweererezanga wansi wo nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema ya Mukama; naye beekuumenga balemenga okusemberera ekyoto wadde eby’omu watukuvu byonna; bwe balikikola, bo naawe mugenda kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era baganda bo banaakolanga emirimu gy'obalagira, n'emirimu gyonna egy'omu Weema, naye tebasembereranga bintu eby'omu watukuvu n'ekyoto, baleme okufa newakubadde mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaakolanga emirimu gy'obalagira, n'emirimu gyonna egy'omu Weema, naye tebakkirizibwa kusemberera bintu eby'omu Kifo Ekitukuvu, wadde alutaari, sikulwa nga bo nammwe mufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era banaakuumanga bye wateresebwa, n'ebiteresebwa eby'Eweema yonna: kyokka tebasembereranga bintu bya mu watukuvu n'ekyoto, baleme okufa, bo newakubadde mmwe.