Numbers 18:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bagambe nti: ‘Bwe munaaweerezanga ekitone ekisinga obulungi, ekyo kinaabalibwanga ng'ebibala ebivudde mu gguuliro lyammwe ne mu ssogolero lyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abaleevi bagambe nti, ‘Bwe munaawangayo ebitundu ebisinga obulungi, binaababalirwangako ng’ebivudde mu gguuliro n’ebivudde mu ssogolero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyonoova obagamba nti, ‘Bwe munaasitulanga ebisinga obulungi ku byo, kale binaabalibwanga eri Abaleevi ng'ekyengera eky'omu gguuliro, era ng'ekyengera eky'omu ssogolero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe munaawangayo ku byo ekitundu ekisinga obulungi, ebirala munaabisigazanga, ng'omulimi bw'asigaza by'aggya mu gguuliro ne mu ssogolero, ng'amaze okuwaayo ekitone kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyonoova obagamba nti Bwe munaasitulanga ebisinga obulungi ku byo, kale binaabalibwanga eri Abaleevi ng'ekyengera eky'omu gguuliro, era ng'ekyengera eky'omu ssogolero.