Numbers 18:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisigalawo mmwe n'ab'omu maka gammwe muyinza okukiriira wonna we mwagala, kubanga kino ye mpeera yammwe olw'okuweereza mu Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe n’ab’omu maka gammwe munaayinzanga okubiriira wonna we munaayagalanga, kubanga eneebeeranga mpeera yammwe olw’omulimu gwe munaakolanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munaabiriiranga mu buli kifo, mmwe n'ennyumba zammwe; kubanga y'empeera yammwe olw'okuweereza kwammwe okw'omu Weema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bye musigazizza, mmwe n'ab'omu maka gammwe, munaabiriiranga wonna we mwagala, kubanga ebyo ye mpeera gye mufuna olw'obuweereza bwe mukola mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaabiriiranga mu buli kifo, mmwe n'ennyumba zammwe: kubanga y'empeera yammwe olw'okuweereza kwammwe okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu.