Numbers 18:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe munaaweerezanga ekitundu ekisinga obulungi, temuliba na musango; olwo ebitukuvu ebiweerezebwa Abayisirayeli muliba temubijaajaamizza, n'olw'ekyo temulifa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaawangayo ebisingira ddala obulungi, tewaabengawo musango gwonna gwe munaabanga muzzizza; bwe mutyo ebiweebwayo ebitukuvu eby’abaana ba Isirayiri munaabanga temubivumisizza, muleme okufa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuubeenga na musango okubirya, kasita munaamalanga okuwa Mukama ebisinga obulungi ku byo. Naye mwekuumenga obutavumaganyanga bitone Abaisiraeri bye bawaayo, nga mubaako bye mulya nga temunnawaayo eri Mukama ekitundu ekyo ekisinga obulungi. Bwe munaabiryangako nga temumaze ku kiwaayo, temulirema kufa.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuubenga na musango okubirya, kasita munaamalanga okuwa Mukama ebisinga obulungi ku byo. Naye mwekuumenga obutavumaganyanga bitone Abayisirayeli bye bawaayo, nga mubaako bye mulya nga temunnawaayo eri Mukama ekitundu ekyo ekisinga obulungi. Bwe munaabiryangako nga temumaze kukiwaayo, temulirema kuttibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temuubengako kibi olw'ebyo, bwe munaamalanga okusitula ku byo ebisinga obulungi ku byo: so temuvumisanga bintu bitukuvu by'abaana ba Isiraeri; mulemenga okufa.