Numbers 18:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajja kukwegattako bakole omulimu gw'okulabirira Weema ey'Ensisinkano, bakole emirimu gyonna egidda ku Weema; abantu aba bulijjo tebabasemberanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagenda kukwegattako, balabirirenga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema, era tewaabenga mugwira n’omu anaasemberanga we muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Banaakoleranga wamu naawe, okulabirira Weema ey'okusisinkanirangamu, nga bakola emirimu gyamu gyonna. Naye atali Muleevi, tabasembereranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaakoleranga wamu naawe, ne balabiriranga Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu, nga bakola emirimu gyamu gyonna. Naye atali Muleevi, takkirizibwa kubasembereranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baligattibwa naawe ne bakuuma eweema ey'okusisinkanirangamu nga bwe baateresebwa, olw'okuweereza kwonna okw'omu Weema: ne munnaggwanga tabasembereranga.