Numbers 18:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kulabiriranga Ekifo Ekitukuvu n'omwaliiro Abayisirayeli baleme kusunguwalirwa nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mmwe munaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’emirimu gyonna egy’awatukuvu n’egy’Ekyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe munaalabiriranga awatukuvu n'ekyoto, nneme kusunguwaliranga baana ba Isiraeri nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe muba mulabiriranga Ekifo Ekitukuvu ne alutaari, nnemenga kuddamu kusunguwalira Bayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaakuumanga awatukuvu nga bwe mwateresebwa, n'ekyoto nga bwe mwateresebwa: walemenga okuba obusungu nate ku baana ba Isiraeri.