Numbers 18:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze naggya baganda bammwe Abaleevi mu Bayisirayeli ne mbabawa ng'ekirabo, abantu abasingiddwa Omukama, baweerezenga mu Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale weeteegereze: nziridde ab’omu lulyo lwo olw’Abaleevi nga mbalonze mu baana ba Isirayiri, ne mbakukwasa ng’ekirabo ekiweereddwayo eri Mukama Katonda okukolanga emirimu egy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange, laba, Nze nnonze baganda bammwe Abaleevi mu baana ba Isiraeri, okuba ekirabo gye muli. Baweereddwayo gyendi, Nze Mukama, okukolanga omulimu gw'obuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Nze kennyini, nze neerobozezza baganda bammwe Abaleevi mu Bayisirayeli, ne baba ekirabo kye mpadde mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange, laba, nze nziye baganda bammwe Abaleevi mu baana ba Isiraeri: bo kirabo gye muli, ekiweereddwa eri Mukama, okukolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu.