Numbers 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga obwakabona ne ku byonna ebidda ku kuweereza ku mwaliiro, ne ku biri munda w'olutimbe. Omulimu gw'obwakabona ngubawa nga kirabo; omuntu owa bulijjo asemberanga okumpi n'Ekifo Ekitukuvu, wa kuttibwanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egy’obwakabona bwammwe egikwata ku kyoto n’egy’omunda w’eggigi. Obuweereza obw’Obwakabona mbubawadde ng’ekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi n’awatukuvu, anaafanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe ne batabani bo munaakolanga omulimu gwammwe ogw'obwakabona ogw'oku kyoto n'awatukuvu. Okuweereza mu bwakabona, nkibawa mmwe ng'ekirabo. Omuntu omulala yenna anaasembereranga ebintu ebitukuvu, anattibwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Ggwe ne batabani bo, munaakolanga omulimu gwammwe ogw'obwakabona ogukwatagana ne alutaari, era n'ebyo ebiri mu Kifo Ekitukuvu. Okuweereza mu bwakabona, nkibawa mmwe ng'ekirabo. Atali Muleevi anaasembereranga ebintu ebitukuvu, anattibwanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe ne batabani bo wamu naawe munaakuumiranga obwakabona bwammwe buli kintu eky'ekyoto n'ebyo ebiri munda w'eggigi; era munaaweerezanga: mbawa obwakabona okuba okuweereza kwe muweereddwa: ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.