Numbers 18:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yagamba Aroni nti: “Nze kennyini nkukwasizza ebitone byonna ebimpeerezebwa. Byonna ebitone ebitukuvu Abayisirayeli bye bampeereza mbikuwadde ggwe ne batabani bo ng'omugabo gwo, ekitundu kyo eky'olubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Laba, Nze kennyini nkukwasizza ebiweebwayo byonna ebireetebwa gye ndi; ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga mbikuwadde ggwe ne batabani bo nga gwe mugabo gwammwe ogw’olubeerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Alooni nti, “Laba, Nze nkuwadde ebiweebwayo gye ndi ebisitulibwa, ebintu byonna eby'abaana ba Isiraeri ebitukuzibwa, mbiwadde ggwe ne batabani bo, olw'okufukibwako amafuta, okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Arooni nti: “Laba, ggwe nkuwadde ebisigalawo nga tebyokeddwa, ku ebyo Abayisirayeli bye bantonera. Mbikuwadde ggwe, ne batabani bo, bibenga omugabo gwe munaafunanga ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Alooni nti Nange, laba, nze nkuteresezza ebiweebwayo gye ndi ebisitulibwa, ebintu byonna eby'abaana ba Isiraeri ebitukuzibwa, ggwe mbiwadde olw'okufukibwako amafuta, ne batabani bo, okuba ebbanja ennaku zonna.