Numbers 19:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anaatwala evvu ly'ente bw'anaamala okwoza ebyambalo bye, naye ajja kusigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Lino tteeka lya lubeerera ku Bayisirayeli n'abagwira abali mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu oyo anaayoolanga evvu ly’ente, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Eryo linaabanga etteeka ery’emirembe n’emirembe eri abaana ba Isirayiri n’eri bannamawanga abanaatuulanga mu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oyo anaayoolanga evvu ly'ente anaayozanga engoye ze, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era lino linaabanga etteeka ery'olubeerera eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi atuula mu bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu ayodde evvu ly'ente eyo, ayoze engoye ze, wabula abe atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Etteeka lino linaabanga lya lubeerera ku Bayisirayeli ne ku bagwira ababeera mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyo anaayoolanga evvu ly'ente anaayozanga engoye ze, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi atuula mu bo etteeka eritaliggwaawo.