Numbers 19:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna akwatanga ku muntu omufu, n'ateetukuza, anaabanga ajaajaamizza Ekisulo ky'Omukama. Oyo akutulwanga ku bantu ba Yisirayeli, kubanga tamansiddwako mazzi gatukuza; taliba mulongoofu, era obutali bulongoofu bwe bulimusigalako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu n’ateelongoosa, anaabanga ayonoonye ennyumba ya Mukama Katonda. Omuntu oyo anaagobwanga mu Isirayiri. Kubanga teyamansirwako mazzi agalongoosa, anaabeeranga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe bunaamusigalangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna afudde, n'ateerongoosa, ayonoona ennyumba ya Mukama; omuntu oyo anaaboolebwanga mu Isiraeri. Anaabeeranga si mulongoofu kubanga teyamansirwako mazzi ag'okwetukuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli akoona ku mulambo gw'omuntu n'ateetukuza, avumaganya Eweema ya Mukama, era anaaboolebwanga mu Bayisirayeli. Anaasigalanga nga si mulongoofu, kubanga tamansiddwako mazzi ag'okwetukuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna afudde, n'ateerongoosa, ng'ayonoona ennyumba ya Mukama; n'obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu Isiraeri: kubanga teyamansirwako mazzi ga kwawula, anaabanga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe nga bukyali ku ye.