Numbers 19:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lino lye tteeka ku muntu afiiridde mu weema: bonna abayingiranga mu weema eyo, na bonna ababeerangamu, banaabanga si balongoofu okumala ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lino lye tteeka erikwata ku muntu anaafiiranga mu weema: Buli anaayingiranga mu weema omwo n’oyo anaabanga agirimu banaabanga abatali balongoofu okumala ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Lino lye tteeka erikwata ku muntu afiira mu weema: buli muntu anaabanga mu weema omwo, n'oyo anaayingirangamu, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'afiira mu weema, lino lye tteeka: buli ayingira mu weema eyo, na buli aba asangiddwamu, aba atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lino lye tteeka omuntu bw'anaafiiranga mu weema: buli anaayingiranga mu weema na buli anaabanga mu weema, anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu.