Numbers 19:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu ng'ali ebweru bw'anaakwatanga ku mulambo gw'omuntu attiddwa n'ekitala, oba afudde obufi, oba bw'akwatanga ku ggumba ly'omuntu, oba ku malaalo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu yenna ng’abadde ali ebweru mu kyererezi, n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba olumbe gwe lusse, oba omuntu yenna anaakwatanga ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli anaakomanga ku mulambo ogw'omuntu eyattirwa ku ttale n'ekitala, oba afudde yekka, oba ku ggumba ly'omuntu oyo, oba ku malaalo ge anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ebweru, buli akoona ku gwe basse obussi, oba ku afudde yekka, oba akoona ku ggumba ly'omufu, oba ku malaalo, taba mulongoofu okumala ennaku musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli anaakomanga ku ttale ebweru ku muntu eyattibwa n'ekitala oba ku mulambo oba ku ggumba ly'omuntu oba ku malaalo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu.