Numbers 19:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mazzi ago omuntu, nga mulongoofu, annyikangamu yissopo n'amansira ku weema yonna na byonna ebirimu n'abantu ababangawo, ne ku oyo abanga akutte ku magumba g'omuntu, oba ku malaalo, oba ku muntu eyattibwa oba eyafa obufi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja omulongoofu anaddiranga ezobu n’aginnyika mu mazzi, n’agamansira ku weema ne ku bintu byamu byonna ne ku bantu bonna abanaabanga balimu. Era anaamansiranga ne ku muntu anaabanga akutte ku ggumba ery’omuntu, ne ku malaalo, ne ku muntu attiddwa, ne ku oyo afudde olumbe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omulongoofu anaddiranga ezobu, n'aginnyika mu mazzi, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byonna, ne ku bantu abalimu, ne ku oyo eyakoma ku ggumba, oba ku oyo eyattibwa, oba eyafa yekka, oba ku malaalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omulongoofu anaakwatanga akati aka yisopu, n'akannyika mu mazzi ago, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byamu byonna, ne ku bantu abaagirimu, ne ku oyo eyakoona ku ggumba oba ku gwe basse obussi oba ku afudde yekka oba ku malaalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omuntu omulongoofu anaddiranga ezobu, n'aginnyika mu mazzi, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byonna, ne ku bantu abaalimu, ne ku oyo eyakoma ku ggumba oba ku oyo eyattibwa oba ku mufu oba ku malaalo: