Numbers 19:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Eno ye ntereeza y'etteeka ly'Omukama gy'alagidde: Lagira Abayisirayeli baleete gy'oli ennyana eya kawemba etaliiko kamogo, etayambazibwanga ku kikoligo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kino kye kiragiro eky’etteeka Mukama ky’alagidde: Gamba abaana ba Isirayiri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko kamogo wadde ekikyamu kyonna, era nga tesibibwangamu kikoligo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama kye yalagira ng'agamba nti, Gamba abaana ba Isiraeri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko bbala, eteriiko bulema, era eteteekebwangako kikoligo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kino kye kiragiro ekiri mu tteeka, Nze Mukama lye nteekawo. Ŋŋamba bwe nti: Gamba Abayisirayeli bakuleetere ente eya lukunyu eteriiko kamogo, era eteteekebwangako kikoligo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama kye yalagira ng'agamba nti Gamba abaana ba Isiraeri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko bbala, eteriiko bulema, eteteekebwangako kikoligo: