Numbers 19:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu atali mulongoofu bw'ataatukuzibwenga, wa kukutulwanga ku kibiina, kubanga aliba ajaajaamizza Ekisulo ky'Omukama, amazzi agatukuza tegamumansiddwako, awo nno si mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateerongoosenga anaagobwanga mu banne bonna, n’asalibwa ku kibiina kyabwe, kubanga anaabeeranga ayonoonye awatukuvu wa Mukama Katonda. Amazzi agalongoosa nga tegamumansiddwako, taabeerenga mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu atali mulongoofu bw'ateetukuza, asigala nga si mulongoofu, kubanga amazzi ag'okwetukuza gaba tegamumansiddwako. Era olw'obutaba mulongoofu, ayonoona awatukuvu wa Mukama, era anaaboolebwanga n'ava mu kibiina ky'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu atali mulongoofu bw'ateetukuza, asigala nga si mulongoofu, kubanga amazzi ag'okwetukuza gaba tegamumansiddwako. Era olw'obutaba mulongoofu, avumaganya Weema ya Mukama, era anaaboolebwanga n'ava mu kibiina ky'abantu ba Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu anaabanga atali mulongoofu n'ateerongoosa, obulamu obwo bunaazikirizibwanga wakati mu kibiina, kubanga ayonoonye awatukuvu wa Mukama: amazzi ag'okwawula tegamansiddwa ku ye; si mulongoofu.

Recommended Reading