Numbers 19:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lino tteeka lya lubeerera gye bali. N'oyo yennyini amansidde amazzi agatukuza, ayozanga ebyambalo bye; na buli yenna akwatanga ku mazzi agatukuza, anaabanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya mirembe gyonna. Oyo anaamansiranga amazzi ag’obulongoofu, naye anaayozanga engoye ze, n’oyo anaakwatanga ku mazzi ag’okulongoosa anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era lino linaabanga tteeka gyebali eritaliggwaawo: n'oyo anaamansiranga amazzi ag'okutukuza anaayozanga engoye ze; n'oyo anaakomanga ku mazzi ag'okutukuza anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna. Omuntu amansira amazzi agakozesebwa okutukuza, naye anaayozanga engoye ze. N'oyo anaakoonanga ku mazzi agakozesebwa okutukuza, taabenga mulongoofu okutuuka akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era linaabanga tteeka gye bali eritaliggwaawo: n'oyo anaamansiranga amazzi ag'okwawula anaayozanga engoye ze; n'oyo anaakomanga ku mazzi ag'okwawula anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.