Numbers 19:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atali mulongoofu kyonna ky'akwatako nakyo tekiibenga kirongoofu; n'akikwatako naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kintu atali mulongoofu ky’akwatako, kinaabanga ekitali kirongoofu; na buli anaakikwatangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kintu atali mulongoofu ky'anaakomangako, kinaabanga ekitali kirongoofu; n'omuntu omulala yenna anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kintu atali mulongoofu ky'anaakoonangako, kinaafuukanga ekitali kirongoofu, ne buli anaakikoonangako, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli kintu atali mulongoofu ky'anaakomangako kinaabanga ekitali kirongoofu: n'obulamu obunaakikomangako bunaabanga obutali bulongoofu.