Numbers 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eleyazari kabona anannyika olunwe mu musaayi gwayo n'agumansira emirundi musanvu mu maaso g'omulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriyazaali anaddiranga ku musaayi gwayo n’olunwe lwe n’agumansira okwolekera obwenyi bwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu emirundi musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriyazaali Kabona, anannyikanga engalo ye mu musaayi n'agumansira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu emirundi musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eleyazaari kabona annyike olugalo lwe mu musaayi gwayo, agumansire emirundi musanvu okwolekera obwenyi bw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Eriyazaali kabona anaatoolanga ku musaayi gwayo n'engalo ye, n'amansira ku musaayi gwayo okwolekera obwenyi bw'eweema ey'okusisinkanirangamu emirundi musanvu