Numbers 19:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ejja kwokerebwa awo mu maaso ge, byonna: eddiba, ennyama yaayo, omusaayi n'obusa; abyokyanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ente eyo eneeyokerwanga mu maaso ge; ne bookya eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’omusaayi gwayo n’obusa bwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ente yonna: eddiba lyayo, n'ennyama, n'omusaayi, n'ebyenda byayo, binaayokebwanga mu maaso ga Eriyazaali kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ente eyo yonna, okutwaliramu eddiba, n'ennyama, n'omusaayi, n'ebyenda byayo, eyokebwe, nga Eleyazaari kabona, alaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bookera ente mu maaso ge; eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'omusaayi gwayo wamu n'obusa bwayo anaabyokyanga: