Numbers 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma anaayoza ebyambalo bye, n'anaaba omubiri, olwo n'alyoka ayingira mu lusiisira; kyokka ajja kusigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo nga biwedde kabona anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba omubiri gwe n’amazzi. Anaddangayo mu lusiisira, naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe n'amazzi, n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye era kabona n'asigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo Eleyazaari ayoze engoye ze, anaabe omubiri, alyoke ayingire mu lusiisira, wabula asigale nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, n'alyoka ayingira mu lusiisira, kabona n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.