Numbers 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'oli anaagyokya, anaayoza ebyambalo bye n'anaaba n'omubiri n'amazzi, era naye ajja kusigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’omusajja anaayokyanga ente eyo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omuntu anaagyokyanga anaayozanga engoye ze mu mazzi, n'anaaba omubiri gwe n'amazzi, naye era n'asigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'omuntu ayokezza ente eyo, ayoze engoye ze, anaabe omubiri, wabula naye asigale nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyo anaagyokyanga anaayozanga engoye ze mu mazzi, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.