Numbers 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu maserengeta y'eriba olusiisira lw'ebibinja bya Rubeni ku bendera yaabwe. Omukulu w'abazzukulu ba Rubeni ye Elizuri mutabani wa Sedewuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ludda olw’obukiikaddyo ebibinja eby’amaggye g’omu kika kya Lewubeeni gye banaasiisiranga, nga basimbye eyo n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku luuyi olw'obukiikaddyo we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Lewubeeni ng'eggye lyabwe bwe liri; era Erizuuli mutabani wa Sedewuli, ye anaabanga omukulu w'abaana ba Lewubeeni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku ludda olw'ebukiikaddyo, we wanaabanga bbendera y'olusiisira lwa Rewubeeni mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Rewubeeni ye Elizuuri mutabani wa Sedewuri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Lewubeeni ng'eggye lyabwe bwe liri: era Erizuuli mutabani wa Sedewuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Lewubeeni.