Numbers 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaabalibwa abakola ekibinja kye bawera emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eggye lye, n'abo abaabalibwa ku lyo baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi buna mu kakaaga mu bitaano.