Numbers 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekika kya Simewoni kye kirisiisira okumuddirira; omukulu w'ab'ekika kya Simewoni ye Selumyeli mutabani wa Zurisaddayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’ekika kya Simyoni be banaabaddiriranga. Omukulembeze w’abantu ba Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana, era Serumyeri mutabani wa Zulisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Simyoni;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'Ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana: era Serumyeri mutabani wa Zulisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Simyoni: