Numbers 2:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaabalibwa ab'olusiisira lwa Rubeni mu bibinja byabwe bawera abantu akasiriivu kamu mu emitwalo etaano mu lukumi mu bina mu ataano. Mu kutambula be banaddangako mu kifo kya kubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Lewubeeni baali kasiriivu mu emitwalo etaano mu lukumi mu bina mu ataano (151,450). Bano be banaabanga abokubiri okutambula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Rewubeeni, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi n'etaano mu lukumi mu bina mu ataano. Abo be banaabeeranga mu kifo ekyokubiri mu kutambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Lewubeeni baali kasiriivu mu obukumi butaano mu lukumi mu bina mu ataano, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaddiriranga bali okusitula.