Numbers 2:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo Weema ey'Ensisinkano y'eneddangako mu kutambula era wamu n'olusiisira lw'Abaleevi eri mu makkati g'olusiisira. Nga bwe baddiriŋŋanye mu kusiisira era bwe banaddiriŋŋananga mu kutambula buli muntu mu kifo kye ku bendera ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eneesitulwanga ng’olugendo lutuuse nga yeebunguluddwa olusiisira lw’Abaleevi, ng’eri mu makkati g’ensiisira endala zonna. Banaasitulanga okutambula nga baddiriragana ng’enteekateeka y’ensiisira zaabwe bw’eri, buli musajja ng’agenda n’ebendera ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo Eweema ey'okusisinkanirangamu n'eryoka etambuzibwa, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi wakati mu nsiisira; nga bwe basiisira, bwe banaasitulanga bwe batyo, buli muntu mu kifo kye, awali ebendera zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo Eweema ey'okunsisinkanirangamu n'eryoka eddako, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi, wakati w'ensiisira ezikulembera n'eziddirira. Nga bwe baddiriŋŋana mu kusiisira, era bwe banaddiriŋŋananga mu kutambula, bagoberere bbendera zaabwe, nga buli omu atambulira mu kifo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eweema ey'okusisinkanirangamu n'eryoka etambulanga, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi wakati mu nsiisira; nga bwe basiisira, bwe banaasitulanga bwe batyo, buli muntu mu kifo kye, awali ebendera zaabwe.