Numbers 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebugwanjuba y'eriba olusiisira lw'ebibinja bya Efurayimu ku bendera ye; omukulu w'abazzukulu ba Efurayimu ye Elisama mutabani wa Ammiwudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ludda olw’ebugwanjuba y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Efulayimu nga bakutte n’ebendera zaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku luuyi olw'ebugwanjuba we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Efulayimu ng'eggye lyabwe bwe liri; era Erisaama mutabani wa Ammikudi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Efulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku ludda olw'ebugwanjuba, we wanaabanga bbendera y'olusiisira lwa Efurayimu, mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Efurayimu, ye Elisaama mutabani wa Ammihudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku luuyi olw'ebugwanjuba we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Efulayimu ng'eggye lyabwe bwe lizi: era Erisaama mutabani wa Amaiikudi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Efulayimu.