Numbers 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekika kya Manasse kye kirisiisira okumuddirira; omukulu w'abazzukulu ba Manasse ye Gamalyeli mutabani wa Pedaasuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekika kya Manase kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekika kya Manase kye kinaamuddiriranga; era Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Manase;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'Ekika kya Manasse be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekika kya Manase kye kinaamuddiriranga: era Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Manase;