Numbers 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekika kya Benyamiini ne kiddako; omukulu w'abazzukulu ba Benyamiini ye Abidani mutabani wa Gidewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekika kya Benyamini ne kiddako. Omukulembeze w’abantu ba Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ekika kya Benyamini; era Abidaani mutabani wa Gidiyooni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Benyamini;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kuddako ab'Ekika kya Benyamiini, ng'omukulembeze waabwe ye Abidaani mutabani wa Gidiyoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekika kya Benyamini: era Abidaani mutabani wa Gidiyooni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Benyamini: