Numbers 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaabalibwa ab'olusiisira lwa Efurayimu mu bibinja byabwe bawera abantu akasiriivu kamu mu kanaana mu kikumi. Mu kutambula baliba mu kifo kya kusatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Efulayimu baali kasiriivu mu kanaana mu kikumi (108,100), ng'eggye lyabwe bwe lyali. Abo be banaabanga ab'okusatu mu kutambula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Efurayimu, mu bibinja byabwe baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi. Abo be banaabeeranga mu kifo ekyokusatu mu kutambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Efulayimu baali kasiriivu mu kanaana mu kikumi, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaddiriranga bali nate okusitula.