Numbers 2:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Emambuka y'eriba olusiisira lw'ebibinja bya Daani ku bendera ye. Omukulu w'abazzukulu ba Daani ye Akiyezeri mutabani wa Ammisaddayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ludda olw’obukiikakkono y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Ddaani n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku luuyi olw'obukiikakkono we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Ddaani ng'eggye lyabwe bwe liri; era Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Ddaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku ludda olw'ebukiikakkono, we wanaabanga bbendera ey'olusiisira lwa Daani mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Daani, ye Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku luuyi olw'obukiika obwa kkono we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Ddaani ng'eggye lyabwe bwe liri: era Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Ddaani.