Numbers 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abalisiisira ebuvanjuba: esookera ddala eri ebuvanjuba ebibinja bya Yuda gye bijja okusiisira ku bendera yaabwe. Omukulu w'abazzukulu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibinja by’olusiisira lwa Yuda binaasiisiranga ku ludda olw’enjuba gy’eva ne basimba awo ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abo abanaasiisiranga ku luuyi olw'ebuvanjuba okutunuulira enjuba gy'eva, banaabanga ba bendera ya lusiisira lwa Yuda, ng'eggye lyabwe bwe liri; era Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ye anaabanga omukulu w'abaana ba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abanaasiisiranga ku ludda lw'ebuvanjuba nga batunuulidde enjuba gy'eva, banaabanga ba bbendera ya lusiisira lwa Yuda mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Yuda ye Nahusooni mutabani wa Amminadabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abo abasiisira ku luuyi olw'ebuvanjuba okutunuulira enjuba gy'eva banaabanga ba bendera ya lusiisira lwa Yuda, ng'eggye lyabwe bwe liri: era Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ye anaabanga omukulu w'abaana ba Yuda.