Numbers 2:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be Bayisirayeli abaabalibwa mu nnyumba za bajjajjaabwe. Abaabalibwa abaali mu lusiisira, mu bibinja byabwe, baawera obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be baana ba Isirayiri abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali. Okugatta abaali mu nsiisira bonna ng’ebibinja byabwe bwe byali, baawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; bonna abaabalibwa ku nsiisira ng'eggye lyabwe bwe lyali baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be Bayisirayeli abaabalibwa okusinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe. Abasajja bonna abaabalibwa mu nsiisira zonna, mu bibinja byabwe, baali emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali: bonna abaabalibwa ku nsiisira ng'eggye lyabwe bwe lyali baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.