Numbers 2:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bakola byonna ng'Omukama bwe yali alagidde Musa; ne basiisira buli omu ku bendera ye, era ne batambuliranga buli omu mu ssiga lye ne mu nnyumba ya bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri bwe batyo ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga ensiisira zaabwe ng’ebendera zaabwe bwe zaali, era bwe batyo bwe baasitulanga okutambula buli bantu mu bika byabwe ne mu mpya za bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe baasiisiranga bwe batyo awali ebendera zaabwe, era bwe batyo bwe baatambulanga, buli muntu ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo Abayisirayeli ne batuukiriza byonna Mukama bye yalagira Musa: ne basiisiranga awali bbendera zaabwe, era ne batambulanga bwe batyo, okusinziira ku nsibuko ya buli omu, n'ennyumba ya bajjajjaabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe baasiisiranga bwe batyo awali ebendera zaabwe, era bwe batyo bwe baasitulanga, buli muntu ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.