Numbers 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekika kya Yissakari kye kirisiisira okumuddirira; omukulu w'abazzukulu ba Yissakari ye Netaneli mutabani wa Zuwari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okuliraana Yuda. Omukulembeze w’abantu ba Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okumuliraana; era Nesaneeri mutabani wa Zuwaali ye anaabanga omukulu w'abaana ba Isakaali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'Ekika kya Yissakaari be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Netaneeli mutabani wa Zuwari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okumuliraana: era Nesaneeri mutabani wa Zuwaali ye anaabanga omukulu w'abaana ba Isakaali: