Numbers 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaabalibwa ab'olusiisira lwa Yuda mu bibinja byabwe bawera abantu akasiriivu kamu mu emitwalo munaana mu kakaaga mu bina. Mu kutambula be banaakulemberangamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Yuda baali kasiriivu mu emitwalo munaana mu kakaaga mu bina (186,400). Abo be banaasookanga okutambula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Yuda, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu bina. Abo be banaasookanga okutambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Yuda baali kasiriivu mu obukumi munaana mu lukaaga mu bina, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaasookanga okusitula.