Numbers 20:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwezi omubereberye Abayisirayeli n'ekibiina kyonna ne batuuka mu ddungu ly'e Zini, ne basigala e Kadesi. Miriyamu n'afiira eyo, n'aziikibwa eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri, ne batuuka mu ddungu lya Zini mu mwezi ogwolubereberye, ne batuula mu Kadesi; Miryamu n'afiira eyo era n'aziikibwa eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwezi ogusooka, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kituuka mu Ddungu ly'e Ziini, ne kisiisira e Kadesi. Miriyamu n'afiira eyo, era n'aziikibwa eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri, ekibiina kyonna, ne batuuka mu ddungu lya Zini mu mwezi ogw'olubereberye: abantu ne batuula mu Kadesi; Miryamu n'afiira eyo n'aziikibwa eyo.