Numbers 20:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa bwe yasitula omukono n'akuba olwazi emirundi ebiri n'omuggo, amazzi nkumu ne gafumbukuka, abantu ne banywa n'ebisolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ayimusa omukono gwe, n'akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri; ne muvaamu amazzi, abantu bonna ne banywa n'ebisibo byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agalula omuggo n'agukubisa olwazi emirundi ebiri, amazzi mangi ne gawamatukamu. Abantu bonna ne banywa era n'amagana gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayimusa omukono gwe, n’akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri: amazzi mangi ne gavaamu, ekibiina ne banywa n'ebisibo byabwe.