Numbers 20:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ge gano amazzi g'e Meriba, Abayisirayeli gye baayombesa Omukama, naye n'abeeraga nga bw'ali omutukuvu mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ago ge mazzi ag'e Meriba; abaana ba Isiraeri gye beemulugunyiza Mukama, n'abalaga nga bw'ali omutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge mazzi g'e Meriba, Abayisirayeli gye baawakanyiza Mukama n'abalaga bw'ali omutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ago ge mazzi ag'e Meriba; kubanga abaana ba Isiraeri baawakana ne Mukama, n'atukuzibwa mu bo.